OMUSALAABA MU BULAMU BWAFFE

.Mu ngeri yaffe abasooka okwavula mu butukirivu omusalaaba tuyinza okugwogerakp mungeri ssatu:

Father Magembe Expedito atugamba nti; Okweewa Mukama kwe kwetikka omusaalaba ogwokwekutulako buli kintu kyonna na buli muntu yenna nosigaza Mukama naabo abakufaanaana mukunoonya. Omusaalaba guno guzitowa nnyo mpozi okusiinga nemirala kubangategulabika kubeera munene. Naye okugwetikka nogusitula neguva ku ttaka notawalula muwalule , kizubu ddala.
Tusomma ku Samson mu kitabo kyabalamuzi (Judg.13:4) Yalina obweyamo obwobutamwa nviiri ku mutwe. Guno gwali musalaaba naye nga mwemwaviiranga obuwanguzi bwonna.
Nabatuusa obweyamo bwabwe bwona bwebatyo babeera nabuli nneema yonna gyebeetaga. Babeerako amafuta agatakubibwaako mukono. Abagala okuteegeera kyengamba abalamuzi / judges chapters 13,14,15 ne 16. bweyayonoona obweyamo bwe nga teyeyagalidde naye nga basenzesenze nga ffe bwebatukola. Mukama yamujako Mwoyo we nasigala kissassalala ekitalimu kabuntu. Naga nomwana omuto asindika eri nekigwa. Kale omusajja eyalwanyisa ensi ennamba nofuuka kirerya! (Soma chapter 16:4-22).father expedito magembe
Ne ba jjajjaffe Adam ne Eve. Obuganzi bwonna baabusuula bwebamenya endagaano ne Mukama. Bamalirira bambadde bikoola.
Ffe tuyinza obutakiraba mangu bwetuba tetukirizza bweyamo bwaffe. Anti Mukama atukwata nakisa olwokubeera omwanawe atuzibira naye era oluvanyuma byonooneka nga ne ssaala omala biseera. Ko nobuganzi mu muntu budduka nebirala bwebityo.
Father Magembe ajulira mu Judg.16:23-31. Tulaba nga Samson ekyaama kye ne Katonda kyaddamu okunyweera. Atekedwa okuba nga yaddamu okwogera ne Katonda. Omukwaano gwadawo enviiri nezimera buto- Mukama namudiza Mwyo owamanyi bwatyo namaliriza nga agamba nti” Mukama wakiri olwaleero nziriza amanyi gange mmalewo abakafiiri bano.”
Buli lweweddaabulula mu bweyamo bwo Mukama addamu okuukubala era natambuula naawe. Naye nga kikutwaalira ebbanga okudda ku level gyewaliko. Gunno omusalaaba tegusaaga. Okuuma obutiribiri ekyaama kya kabaka- gwemusaalaba oguyinza okukutemula.
Omusalaaba guno bwegukulemerera ddala okugwetikka emirundi mingi Mukama akuvaako nakusuula eri.
Engeri eyokubiri ney’okussatu eyogera ku musalaaba Email Frmagembe@mtsionbukalango.org oba mukubire ku ssimu eno +256772440141.
Okumanya ebisingawo email: infor@mtsionbukalango.org oba kuba  +256774444119

 

Sponsored Ads

Father Magembe - Catholic Church

uganda safaris
gorilla safari
uganda tours